Isaiah 34

Amawanga gasalirwa Omusango

1 aMusembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 b Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 cAbantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 dEmmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.

5 eWeewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 fEmbogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.

8 g Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,
bulimbo kifaanana ng’ennoni

n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo
bulimbo kifaanana ng’ennoni
obuggya omuliro.
10 jTalizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 kEkiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 lAbakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 mAmaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 nEnsolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 oEkiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 pTunula mu muzingo gwa Mukama osome.

Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 qAgabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Copyright information for LugEEEE